Nzikiriza ey'eNicea
Nzikiriza ey'eNicea bye bigambo eby'okwatula okukkiriza ebyakkiriziganyizibwako olukiiko lw'Eklezia yenna olubereberye olwatuula e Nicea mu mwaka 325. Nzikiriza eno y'efunza byonna aba Kristu bye bakkiriza era nga eyatulwa mu mmisa eza Sande n'ennaku enkulu. Nzikiriza eno ekozesebwa mu nzikiriza nnyingi ezikkiririza mu Kristu nandibadde nga ebigambo ebimu byawukanamu ko. Eno wammanga, y'eNzikiriza nga bwekozesebwa mu Eklezia Katolika.
Nzikiriza
[kyusa | kolera mu edit source]Nzikiriza Katonda omu. Patri omuyinza wa buli kantu, eyakola eggulu n’ensi, na byonna ebirabika n’ebitalabika.
Nzikiriza n’Omukama omu Yezu Kristu, Omwana omu ati owa Katonda, Patri gw’azaala nga n’emirembe gyonna tiginnabaawo. Katonda ava mu Katonda, Ekitangaala ekiva mu Kitangaala, Katonda ddala ava mu Katonda ddala. Yazaalibwa buzaalibwa, tiyatondebwa, ye ne Patri mu bwakatonda be bamu ddala: byonna mwe byakolebwa.
Oyo olw’okubeera ffe abantu, olw’okutulokola yava mu ggulu n’akka. N’afuna omubiri mu Maria omubeererevu ku bwa Mwoyo Mutuukirivu, n’afuuka omuntu.
Era olw’okubeera ffe, yakomererwa ne ku musaalaba, n’abonaabona ku mirembe gya Ponsio Pilato, n’aziikibwa, n’azuukira ku lw’essatu nga bwe kyali mu biwandiiko. N’alinnya mu ggulu, atudde ku gwa ddyo ogwa Patri. Alijja ogw’okubiri n’ekitiibwa okulamula abalamu n’abafu, obwakabaka bwe tibuliggwaawo.
Nzikiriza ne Mwoyo Mutuukirivu, Omukama era awa obulamu, ava mu Pat
Oluyimba
[kyusa | kolera mu edit source]Nzikiriza bweba nga tesomeddwa, esobola okuyimbibwa. Enzivuunula y'oluyimba olwa Nzikiriza mu Luganda nga luva mu lw'olulattini y'eno:
Nzikiriza Katonda Omu
[kyusa | kolera mu edit source]Nzikiriza Katonda omu, Patri ayinza buli kantu, Omutonzi w’eggulu n’ensi, ebirabika byonna,. era n’ebitalabika
N’Omukama omu Yezu Kristu, Mwana omu yekka owa Katonda, Eyazaalibwa Patri Nga emirembe gyonna teginnabaawo, Katonda ava mu Katonda, Kitangaala mu kitangaala Katonda ddala ava mu Katonda ddala, yazaalibwa tiyakolebwa, obwakatonda obumu ne Patri. byonna mwe byakolebwa. eyava mu ggulu nakka olw’okubeera ffe abantu, alyoke atulokole:
N’afuna omubiri ku bwa Mwoyo Mutuukirivu, mu Maria embeerera, n’afuuka omuntu
N’akomererwa era ku lwaffe ku mirembe gya Pilato, n’abonaabona era n’aziikibwa. era yazuukira ku lw’essatu nga bwe kyalangwa; n’alinnya mu ggulu atudde ku ddyo ogwa Patri
Alidda ogw’okubiri n’ekitiibwa okulamula abalamu n’abafu, obwakabaka bwe tebuliggwawo.
Ne Mwoyo Mutuukirivu , Mukama, atuwa obulamu, Asibuka mu Patri ne mu Mwana Asinzibwa ne Patri wamu ne Mwana agulumizibwa nabo eyayogerera mu balanzi
N’Eklezia omu Omutukuvu, Katolika eyava mu Batume Nzikiriza Batismu emu Okusonyiyibwa ebibi. Era nninda, n’okuzuukira Okw’abafu, n’obulamu obw’emirembe egirijja. Amiina.